Back to Level 3 Index

Lesson 53 – Vocabulary

Kino kitabo kya njawulo. (This book is special. [literal: ‘is different’])
Nakitto omukyala wa njawulo. (Nakitto is a special lady.)
Emmere eno si ya njawulo. (This food is plain. [not special])
Mukasa ombazzi wa bulijjo. (Mukasa is not an exceptional carpenter. [is an ordinary carpenter]).
Abantu bano si ba bulijjo. (These people are unusual.)
Embwa zino si za bulijjo. (Those dogs are unusual.)
Ekirowoozo kyo kya mugaso gyendi. (Your opinion is important to me.)
Emiyembe gya mugaso ku maaso. (Mangoes are good [nutritious] for the eyes.)
Ssukaali si wa mugaso mu mubiri. (Sugar is not good for the body.)
Luno olugero lwa ddala. (This is a real/true story.)
Eyo makansi ya ddala. (These scissors are real. [are very good])
Yokanna makanika wa ddala. (Yokanna (John) is a real [very good] mechanic.)