Back to Level 4 Index

Lesson 74 – Eating

Balya emirundi ebbiri oba esatu. (They eat two or three times.)
Tebalina kiseera kulya kyankya. (They don’t have time to eat breakfast.)
Oluvannyuma lwa kaawa bayinza okulya ekyemisana. (After coffee, they can eat lunch.)
Okusooka ku makya … (First in the morning …)

A Narrative
Mu Buganda abantu abasinga obungi balimi, era buli nkya ku makya bakeera okugenda okulima. Kale oluusi abantu tebalina kiseera kulya kyankya; bagenda bugenzi mu nnimiro, ne batandika okulima. Oluusi balima okutuusa essaawa nnya oba taano, ne bakomawo eka. Bwe badda eka banywa caayi oba kaawa; oluvannyuma balya ekyemisana ku ssaawa musanvu oba munaana ate baddayo mu nnimiro oba okukola emirimu emirala ne balya ekyekiro ku ssaawa ssatu, oluusi ssatu n'ekitundu.
In Buganda the majority of the people are farmers and at each daybreak they prepare to go farm/dig. Even sometimes they don't have time to eat breakfast; they go right to the garden and start to dig. Sometimes they dig til 10 or 11am then they return home. When they are at home, they drink tea or coffee; afterwards they eat lunch at 1 or 2pm then they return to the garden or to do other work and they eat supper at 9pm, sometimes 9:30.